Numbers 13:1-3

Abakessi Kkumi na Babiri Baweerezebwa mu Kanani

1Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 2 a“Tuma abasajja bagende bakette beetegereze ensi ya Kanani gye ŋŋenda okuwa abaana ba Isirayiri. Mu buli kika kya bajjajja ojja kulondamu omusajja omu ku bakulembeze baakyo.”

3Bw’atyo Musa n’abatuma okuva mu ddungu lya Palani, ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali. Bonna baali bakulembeze b’abaana ba Isirayiri.

Copyright information for LugEEEE